Psalms 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si bwe batyo ababi! Wabula bali ng'enfuufu empewo gy'ekuŋŋunsiza eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ababi si bwe bali, Bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ababi si bwe bali. Bafaanaanyirizibwa n'ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.