Psalms 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki omubi okugaya Katonda, mu mutima gwe n'agamba nti: “Talibuuliriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda, n’agamba mu mutima gwe nti “Sigenda kwennyonnyolako?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'agamba mu mutima gwe nti, “Tajja kunvunaana?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki omubi anyooma Katonda, n'agamba mu mutima gwe nti: “Tajja kunvunaana”?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?