Psalms 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe, Katonda, olaba okubonaabona n'ennaku, olyoke obisse mu mikono gyo; omunaku yeewaddeyo gy'oli, ggwe ajuna mulekwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba era ojja kubikolako. Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo, kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, weetegese okuyamba. Ateesobola yeewaayo gy'oli, Bulijjo bamulekwa ggwe obayamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe olaba; otunuulira ettima n'obukyayi, nga weetegese okuyamba. Ateesobola yeeteeka mu mikono gyo, bulijjo bamulekwa ggwe obayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe.