Psalms 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Menya omukono gw'omubi n'ogw'omwonoonyi; noonyereza emisango gyabwe okutuusa nga tokyazuulayo mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malawo amaanyi g’omwonoonyi, muyite abyogere ebyo ebibadde bitajja kuzuulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malamu omubi amaanyi, Omalirewo ddala ebibi bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi era omwonoonyi mumale amaanyi, omalirewo ddala ebibi bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.