Psalms 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kwekuza kwabwe ababi bacoccanya abanaku; Bakwatiddwa mu nkwe zaabwe ze bakoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu; muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababi mu malala gaabwe bayigganya abaavu, Leka bakwatibwe bo bennyini mu mitego gye bateze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi beekulumbaza ne bayigganya abaavu, ne babakwasa mu mitego gye bateze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.