Psalms 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi yeetendera mu maddu g'omutima gwe; yeesiimisa ow'omululu, avuma Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe, agabula aboomululu n’avuma Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi yeewaana olw'okwegomba kwe okubi, ow'omululu yeegaana Mukama era amunyooma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.