Psalms 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi talaba Mukama; mu kwekuza kwe omwonoonyi tafaayo, mu kulowooza kwe Katonda taliiyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubi mu malala ge tanoonya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubi mu malala ge tanoonya Mukama, Alowooza nti, “Tewali Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi yeekulumbaza n'agamba nti: “Mukama talinvunaana.” Alowooza nti Katonda taliiwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.