Psalms 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alowooza mu mutima gwe nti: “Tewali kirinnyeenya; mu mazadde n'amazadde tewaliba kimbonyaabonya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa, nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agamba mu mutima gwe nti, “Sirisagaasagana. Siriraba nnaku emirembe gyonna”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agamba mu mutima gwe nti: “Sirisagaasagana. Siribonaabona emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.