Psalms 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa ke kajjudde bikolimo, bulimba na kunyigiriza; wansi w'olulimi lwe waliyo mitawaana na bugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa; ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamwa ke kajjudde okukolima, okulimba n'okujooga. Ayanguwa okwogera eby'ettima n'ebitali bya butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
By'ayogera bijjudde okukolima, n'obulimba era n'obukambwe. Ayanguyira okwogera eby'ettima n'eby'enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu: