Psalms 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ateega ng'empologoma mu bukukumo bwayo; ateegerera akwakkule ataliiko bw'ali; akwakkula omunaku n'amuwalaawalira mu kitimba kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asooba mu kyama ng’empologoma, ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola. Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Yeekisa okukwata omwavu, N'amukwatira ddala omwavu, n'amuwalurira mu kitimba kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeekweka n'ateega ng'empologoma mu mpuku yaayo. Akwata omwavu n'amutwala ng'amuwalulira mu kitimba kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye.