Psalms 101:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwa Dawudi. Zabbuli. Nzija kuyimba ekisa n'obwesigwa, ayi Mukama, nzija kukuyimbira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaayimbanga ku bwesigwa n'amazima: Ggwe, Ayi Mukama, gwe nnaayimbiranga okukutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka nnyimbe ku bwesigwa n'amazima, nnyimbire ggwe, ayi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.