Psalms 101:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ageya munne mu nkiso ndimuzikiriza, omwepansi n'eyeekulumbaza siribagumiikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'amuzikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kweggyangako awaayiriza munne mu kyama, eyeepanka era eyeekulumbaza siimugumiikirizenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.