Psalms 102:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zange zifuuse ng'ekisiikirize eky'akawungeezi; ŋŋenda nkala ng'omuddo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe; erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, Ayi Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe ayi Mukama, obeerawo emirembe gyonna, era omanyibwa aba buli mulembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.