Psalms 102:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaanyi gange agakomezza mu kkubo; ennaku z'obulamu bwange azisazeeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka mmukaabira nti, “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange, ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti Ayi Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, tonzigyawo nga sinnakaddiwa, ggwe abeerawo emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.