Psalms 102:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, Tontwalira mu makkati ga nnaku zange; emyaka egigyo gimala mazadde na mazadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi; n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edda n'edda ennyo watonda ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edda n'edda ennyo watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Edda n'edda watandika ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.