Psalms 103:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti eggulu nga bwe lyewanise waggulu ku nsi, n'ekisa kye bwe kyenkana obungi ku abo abamutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi, n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'eggulu bwe lyesudde ennyo ensi, n'ekisa kye gye kikomya okuba ekingi ku abo abamussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.