Psalms 103:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga kitaawe w'abaana bw'asaasira, n'Omukama bw'asaasira atyo abamutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga kitaawe w'abaana bw'asaasira abaana be, bw'atyo ne Mukama bw'asaasira abamussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.