Psalms 103:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
empewo olukifuuwako, nga tekikyaliwo, n'ekifo kyakyo nga tekikyakijjukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga empewo zikikuntako, ne kibanga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embuyaga zikiyitako nga zikunta, ne kigenda ne kitaddawo we kibadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.