Psalms 103:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamalayika be, mugulumize Omukama, mmwe bannamige abazira, abatuukiriza by'alagira, abawulira ekigambo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba, era abagondera ekigambo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza by'alagira, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutendereze Mukama mmwe bamalayika be, ab'amaanyi abakola by'alagira, era abawulira by'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.