Psalms 104:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe waboggola, ne gadduka; eddoboozi lyo bwe lyabwatuka, ne gabulawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wagaboggolera ne gadduka; bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe bwe waganenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wagakayukira, ne gadduka; gaakulugguka bwe gaawulira eddoboozi lyo bwe libwatuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe bwe wanenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda;