Psalms 105:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'abaggyayo nga bakwatiranye ffeeza ne zaabu, ne mu bika byabwe temwali muyongobevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu; era bonna baali ba maanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaggyamu Abaisiraeri nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu n'omu mu bika byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alyoka aggyayo Abayisirayeli nga balina ffeeza ne zaabu, nga bonna balamu era ba maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu omu mu bika bye.