Psalms 106:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuliro ne gutumbuka mu kibinja kyabwe, ennimi z'omuliro ne zookya ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe; ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omuliro gwakoleera ku kibiina ekyo, ne gwokya abantu abo ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi.