Psalms 106:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba nti ajja kubazikiriza, taba kubeera Musa mulonde we, eyayimirira mu maaso ge n'obuzira, awugule obusungu bwe, aleme kubazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, Ajja kubazikiriza. Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge n'amwegayirira, Okuziyiza obusungu bwe, aleme okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali agambye nti abasaanyeewo, singa Musa omulondemu we teyeesimbawo w'ali, okuziyiza obusungu bw'aleese okubazikiriza bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza.