Psalms 106:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beegatta ku Baali ow'e Pewori, ne balya ebyonziira bya balubaale abafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baatandika okusinza Baali e Peoli; ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe baatuuka e Peyori ne beetaba mu kusinza Baali. Ne baguma okulyanga ebyo abafu bye batambirirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu.