Psalms 106:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baamunyiiriza ku mazzi g'e Meriba, Musa ne bimujjira bubi olw'okubeera bo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama, ne baleetera Musa emitawaana;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, Era bwatyo Musa n'alaba obubi ku lwabwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era baanyiiriza Mukama ku mazzi g'e Meriba, ne baleetera Musa emitawaana:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, N'okulaba Musa n'alaba obubi ku lwabwe: