Psalms 106:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batyo ne bayiwa omusaayi ogutaliiko musango, omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe be baawongeranga ebifaananyi bya Kanaani ebya balubaale. Ensi n'ejaajaamizibwa olw'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola, ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Battanga abaana baabwe abataliiko musango, ne babatambirira balubaale b'e Kanaani. Ensi n'eyonoonebwa obutemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.