Psalms 106:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mirundi mingi yabanunulanga, naye bo baasigala bajeemu mu bye baateesanga, ne baggweekerera mu bwonoonyi bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi, naye obujeemu ne bubalemeramu, ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi mingi Mukama n'abawonya, kyokka ne balondawo okumujeemera. Ne bongera okwessa mu bibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.