Psalms 106:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe emirembe n'emirembe; abantu bonna bagambe nti: “Amiina!” Alleluuya!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri, emirembe n’emirembe. Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!” Mumutendereze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Era abantu bonna boogere nti Amiina. Mumutendereze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwenga emirembe n'emirembe. Era abantu bonna bagambenga nti: “Amiina.” Mutendereze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna.