Psalms 106:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndabe ebirungi by'abalondemu bo, nsanyukire wamu n'abantu bo, ntenderereze wamu n'obusika bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi, nsanyukire wamu n’eggwanga lyo, era ntendererezenga mu bantu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be walonda ndabe bwe bafuna omukisa, ngabane ku ssanyu ly'eggwanga lyo, nsanyuke olw'okubalirwa mu babo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo.