Psalms 106:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'abawonya olw'okubeera erinnya lye, amanyise bw'atyo obuyinza bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye, alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye n'abalokola olw'erinnya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye n'abawonya nga bwe yali asuubizza, alyoke alage obuyinza bwe obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye n’abalokola olw'erinaya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi.