Psalms 107:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kutoowaza omutima gwabwe n'okukuluusana; baasinzittuka, naye ne wabula adduukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakoowa olw'emirimu emikakali, ne bagwa wansi ne babulwa abayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.