Psalms 107:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne balaajanira Omukama mu buyinike bwabwe, n'abawonya mu nnaku zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe, era n’abawonya;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakaabirira Mukama mu buzibu bwabwe, n'abawonya obuyinike bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.