Psalms 107:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabawa omukisa, ne baala nnyo, n'amagana gaabwe teyagaganya kukendeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi; n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abawa emikisa ne beeyongera nnyo obungi, era n'ataganya na nte zaabwe kukendeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.