Psalms 107:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu baabungeetera mu ddungu, mu nkoola; tebaasanga kkubo libatuusa mu kibuga kya kusengamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu baataataaganira mu malungu nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu baataataaganira mu ddungu omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baawabira awatali kkubo mu ddungu, nga tebamanyi bwe balituuka mu kibuga kya kubeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.