Psalms 107:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo omugezi yekkaanye bino yeefumiitirize ekisa ky'Omukama ekingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli alina amagezi, bino abiteekeko omwoyo. Abantu balowoozenga ku kisa kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.