Psalms 108:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; Omutima gwange munywevu! Naayimba, ne nkusuuta, okutendereza, zuukuuka, ggwe mwoyo gwange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutima gwange mugumu, ayi Katonda, omutima gwange mugumu, nnaayimba ne nkutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange.