Psalms 108:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuyambeko okulwanyisa omulabe, kubanga obuyambi bw'omuntu temuli nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ye alitukoza eby'obuzira, Kubanga oyo ye alinnyirira abalabe baffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Katonda ali ku ludda lwaffe, tuliba ba maanyi. Ye alirinnyirira abalabe baffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.