Psalms 108:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganzi bo balyoke balokolebwe, tuwonye n'omukono gwo ogwa ddyo, otuwulire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti, “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu, era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu, Olw'okugulumizibwa, ndisala mu Sekemu, era ndigabaanyamu ekiwonvu ekya Sukkosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu, n'agamba nti: “Ndijaguza nga ngabanya mu Sikemu, ne ngaba ebitundu by'Ekiwonvu Sukkoti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.