Psalms 109:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga teyalowooza ku kugirira kisa, wabula okuyigganya omunaku n'omunkuseere, n'okwagala okutta akabiriddwa mu mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa; naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga, n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'abo abalina omutima ogunakuwadde n'abatuusa ne ku kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga teyalina kisa. Yayigganya abaavu n'abali mu bwetaavu, era n'abaterebuse, okubatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.