Psalms 109:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayagalanga okuvumirira, ebikolimo nno bimugwire; omukisa teyagwagala, kale nno gumwesambe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayagalanga nnyo okukolima, leka ebikolimo bimuddire, Teyayagalanga mikisa, kale gimwesambire ddala!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye ayagala okukolima, k'akolimirwe. Teyayagaliza balala mikisa, naye ka gimwesambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.