Psalms 109:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayambala ekikolimo ng'olugoye, kale nno kimuyingire munda ng'amazzi, ne mu magumba, ng'omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo, ne kumutobya ng’amazzi, ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Kakimuyingire mu nda ye ng'amazzi, N'emumagumba ge ng'amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukolima yakufuula ng'ekyambalo kye, ka kumuyingire mu mubiri ng'amazzi, ne mu magumba ng'omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge.