Psalms 109:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga omubi n'omulimba baasamizza akamwa kaabwe okunnumba; banjogerako n'olulimi olulebula,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba, banjogeddeko eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu ababi banjogeddeko eby'obulimba. Boogedde nange n'olulimi olulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi n'abalimba boogera nga bampaayiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba.