Psalms 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ali mu Kiggwa kye ekitukuvu; Omukama awaŋŋamye ku nnamulondo ye mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira, emmunye ze zekkaanya abaana b'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu, Entebe ye eri mu ggulu. Amaaso ge galaba abaana b'abantu, yeetegereza bye bakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ali mu Ssinzizo lye ettukuvu, entebe ye eri mu ggulu. Atunuulidde abantu bonna, era yeetegereza bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.