Psalms 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababi alibayiwako amanda n'olunyata lw'ebibiriiti; empewo ebabula y'eriba omugabo gw'ekikompe kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababi alibayiwako amanda ag’omuliro; n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababi abayiwako amanda g'omuliro n'obuganga. Ababonereza n'empewo eyokya ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababi abayiwako amanda g'omuliro n'obuganga, ababonereza n'empewo eyokya ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe.