Psalms 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama mutuukirivu, ayagala eby'obutuukirivu; abaluŋŋamu baliraba amaaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama mutuukirivu, ayagala ebikolwa ebirungi. Abatuukirivu baliraba amaaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama mutuukirivu, ayagala ebikolwa ebirungi. Ababikola balibeera mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.