Psalms 110:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwa Dawudi. Zabbuli. Omukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo. ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama agamba mukama wange nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.” 15:25; Beef 1:20-22; Bak 3:1; Beb 1:13; 8:1; 10:12-13
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.