Psalms 110:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alisinziira mu Siyoni n'abunya ddamula w'obuyinza bwo; n'agamba nti: “Fuga mu balabe bo wakati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni; olifuga abalabe bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni; Ggwe fugira wakati mu balabe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'oli mu Siyooni, Mukama aligaziya obuyinza bwo, n'agamba nti: “Fuga abalabe bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo.