Psalms 110:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukungu bubwo okuviira ddala ku lunaku lw'amaanyi go, ng'olabise mu kwakaayakana okutukuvu; nakuzaala nga ne mmambya tannasala, nga ssuulwe w'oku maliiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo ng’ekiseera ky’olutalo kituuse. Abavubuka bo, nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu, balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo balyewaayo bokka Mu ggye lyo ng'ekiseera ky'olutalo, ku lusozi olutukuvu, Oguva mu lubuto lw'enkya. ng'omusulo bwe gujja, abavubuka bwe balikukuŋŋaanirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lw'olwanyisa abalabe bo abantu bo balyewaayo okulwana nga beeyagalidde. Abavubuka bo balijja gy'oli, ku nsozi entukuvu, ng'omusulo ogw'oku makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo: Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo, Oguva mu lubuto lw'enkya.