Psalms 111:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alleluuya! Nnaatendereza Omukama n'omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw'abatuufu ne mu lukuŋŋaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutendereze Mukama. Nneebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutendereze Mukama. Neebaza Mukama n'omutima gwange gwonna abatuukirivu we bakuŋŋaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.