Psalms 111:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kutya Omukama amagezi mwe gasookera, bonna abakikola baba n'omutima ogutegeera. Ettendo lye lisigalawo emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okussaamu Mukama ekitiibwa ye ntandikwa y'amagezi. Bonna abakola bwe batyo, be bategeevu. Mukama wa kutendebwanga emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.